Zechariah 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'aŋŋamba nti: “Kino kye kigambo ky'Omukama eri Zerubabbeli, si na maanyi, si na buyinza, wabula na Mwoyo wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addamu n'aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: nga kyogera nti, Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba okutwalira Zerubabbeeli obubaka buno obuva eri Mukama Nnannyinimagye, obugamba nti nti: “Oliwangula, si lwa kuba ng'oli wa maanyi mu kulwana, wadde ow'obuyinza, naye lwa mwoyo gwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'aŋŋamba nti Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga kyogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.