Zechariah 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe ani, ggwe olusozi olunene? Mu maaso ga Zerubabbeli ojja kufuuka museetwe. Aliggyayo ejjinja ery'oku ntikko eno nga bayogaana nti: ‘Aliwe omukisa, aliwe omukisa!’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe olusozi olunene, weeyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti ‘Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebizibu ebigulumivu ng'olusozi, birivaawo mu maaso go. Olizimba Essinzizo obuggya, era bw'oliba ozimbako ejjinja erimaliriza, abantu balireekaana nti: ‘Nga ddungi, nga ddungi!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olusozi olunene ggwe, weeyita ki? mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa.