Zechariah 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Emikono gya Zerubabbeli gibanze omusingi gw'Ekiggwa kino, era emikono gye gye girikimaliriza. Olwo mulimanya nti Omukama w'Amagye ye yantuma gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwe ennyumba eyo, era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Zerubabbeeli ataddewo omusingi gw'Essinzizo, era alirizimba n'alimaliriza. Olwo abantu bange balitegeera nga Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze nakutuma gye bali,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emikono gya Zerubbaberi girasizza ennyumba eyo; era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli.