Zechariah 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne ŋŋamba nti: “Ndaba omuzingo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mikono amakumi abiri obuwanvu n'emikono kkumi obugazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?” Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “ Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti, “Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi (10).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'ambuuza nti: “Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugazi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Olabye ki ggwe? Ne nziramu nti Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka; obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi.