Zechariah 5:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Ekyo kye kikolimo ekigenda kibuna mu nsi yonna; kuba, nga bwe kigambye, buli mubbi wa kwerawo, era nga bwe kigambye, buli alayira eby'obulimba naye wa kwerawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Ekyo kye kikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aliggibwawo era buli alayira eby'obulimba aliggibwawo bamulaze ku luuyi olulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'aŋŋamba nti: “Guwandiikiddwako ekikolimo ekijja okubuna ensi yonna. Ku ludda olumu, omuzingo guwandiikiddwako nti buli abba, aliggyibwa mu nsi. Ku ludda olulala guwandiikiddwako nti buli alimba ng'alayira, naye aliggyibwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Ekyo kye kikolimo ekifuluma okubunya ensi yonna: kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aligobwamu ku luuyi lwayo olumu; era ng'ekyo bwe kiri, buli alayira aligobwamu ku luuyi lwayo olulala.