Zechariah 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukisindika, Omukama w'Amagye y'agamba, kijja kuyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu y'oyo alayira mu linnya lyange eby'obulimba. Kijja kusigala mu nnyumba ye kigizikirize, na byombi embaawo zaakyo n'amayinja gaakyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira obwereere erinnya lyange, era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti alisindika ekikolimo ekyo, ne kiyingira mu nnyumba ya buli muntu abba, ne mu ya buli muntu alimba ng'alayira, era kiribeera mu nnyumba zaabwe, ne kizisaanyizaawo ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira erinnya lyange obulimba; era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.