Zechariah 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Kiki ekyo?” N'aŋŋamba nti: “Kisero kye kiyitawo.” N'agamba nti: “Kino kye kibi kyabwe mu nsi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?” N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nemubuuza nti, “Ekyo kiki?” N'anziramu nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbuuza nti: “Kiki ekyo?” N'addamu nti: “Ekyo kisero, era kitegeeza ekibi ky'ensi yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera nti Ekyo kiki? N'ayogera nti Ekyo ye efa efuluma. Era n'ayogera nti Amaaso gaabwe bwe gali bwe gatyo ku nsi yonna;