Zechariah 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Ono bwe buseegu!” N'amusindika n'addayo munda, n'asaanikira n'amaanyi ekiyinja eky'essasi ku kamwa kaakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Ono bwe Bubi.” N'amusindika n'amuzzamu munda mu kisero, n'aggalawo omumwa gwakyo n'ekisaanikira eky'ekyuma eky'essasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'agamba nti: “Omukazi ono kye kibi.” Awo n'amuzzaamu mu kisero, n'akibikkako ekisaanikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ono bwe Bubi; n'amusuula wansi munda mu efa: n'ateeka omusinga gw'essasi ku kamwa kaayo.