Zechariah 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nsitula amaaso ne ndaba: waaliwo abakazi babiri nga bafuluma, ebiwaawaatiro byabwe nga bisitulwa empewo. Ebiwaawaatiro byabwe nga bifaanana ng'ebya ssekanyolya, ne basitula ekisero wakati w'ensi n'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula ekisero mu bbanga ly'ensi n'eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nayimusa amaaso gange ne ndaba abakazi babiri abajja nga baseeyeeya mu bbanga, nga balina ebiwaawaatiro, ne babuuka nakyo mu bbanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula efa mu bbanga ly'ensi n'eggulu.