Zechariah 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nnyimusa amaaso gange nate, ne ndaba: awo waaliwo ebigaali bina nga bifuluma biva wakati w'ensozi bbiri, ensozi nno nga za kikomo!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne nyongera okuyimusa amaaso gange, era laba, amagaali g’embalaasi ana nga gava wakati w’ensozi bbiri, n’ensozi ezo zaali nsozi za bikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri, n'ensozi ezo zaali za bikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba amagaali ana, nga gava wakati w'ensozi bbiri ez'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi nsozi za bikomo.