Zechariah 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggya ku bano abavudde mu buwaŋŋanguse, Keludayi, Tobiya, ne Yedaaya, abakomyewo okuva e Babiloni, ojje ku lunaku olwo mu nnyumba ya Yosiya mutabani wa Zefaniya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda eri bano: Kerudayi, ne Tobiya, ne Yedaya, abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, olunaku olwo lwennyini olage mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zeffaniya, mwe bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babbulooni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Twala ebirabo ebireeteddwa Eludiya ne Tobiya ne Yedaaya, abakomyewo okuva e Babilooni, ogende ku lunaku olwo lwennyini oyingire mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zefaniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni;