Zechariah 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddira ffeeza ne zaabu okole engule, ogisse ku mutwe gwa Yoswa mutabani wa Yozadaki, kabona omukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddira effeeza ne zaabu okole engule ogitikkire ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu, omwana wa Yekozadaaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otoole ku ffeeza ne zaabu gwe baleese, okolemu engule, ogitikkire ku mutwe gwa Ssaabakabona Yoswa, mutabani wa Yehozadaaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;