Zechariah 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugambe nti: Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Wuuno omusajja, erinnya lye ye 'Ttabi'; alimeruka okuva mu kifo kye n'azimba Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omugambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba Yeekaalu ya Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omutegeeze nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Omuntu ayitibwa Ttabi alikulira mu kifo mw'ali, era alizimba Essinzizo lya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama: