Zechariah 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Y'oyo alizimba Ekiggwa ky'Omukama, oyo alijjula ekitiibwa; alituula n'afuga ku nnamulondo ye. Walibaawo ne kabona ku ddyo we, ate bombi balitegeeragana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama, era alijjula ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’afuga. Era y’aliba Kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka; walibaawo okutegeeragana okw’emirembe wakati wa Ttabi ne Yoswa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo ye alizimba Yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ye alizimba Essinzizo eryo, n'aweebwa ekitiibwa ekya kabaka era ye alifuga abantu be. Walibaawo kabona ayimirira okumpi n'entebe ye ey'obwakabaka, ne bakolera wamu mu kuteesa okw'emirembe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.