Zechariah 6:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abali ewala balijja ne bayamba ku kuzimba Ekiggwa ky'Omukama. Olwo mulimanya nti Omukama w'Amagye y'ansindise gye muli. Kino kirituukirira singa muliba mutaddeyo omwoyo okuwulira Omukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’abo abali ewala balijja okuyamba okuzimba yeekaalu ya Mukama, era mulimanya nga Mukama ow’Eggye yantuma gye muli. Bino tebirirema kubaawo singa munaagondera eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obumalirivu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Era abaali ewala balijja balizimba mu Yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abali ewala balijja ne bayamba okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama. Bwe lirimala okuzimbibwa obuggya, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma gye muli. Ebyo birituukirira, bwe mulinyiikira okuwulira ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.