Zechariah 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ez'ekyokusatu nga njeru, n'ez'ekigaali ekyokuna nga za magondogondo; zonna nga za maanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggaali eyokusatu ng’esikibwa mbalaasi njeru, eyokuna yo ng’esikibwa za kikuusikuusi atabikiddwamu n’obwoya obweru. Embalaasi ezo zonna zaali z’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eggaali ey'okusatu ng'esikibwa embalaasi enjeru ne eggaali ey'okuna yali esikibwa embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eryokusatu nga lisikibwa embalaasi enjeru, n'eryokuna nga lisikibwa embalaasi ez'amabomboola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.