Zechariah 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'ayanukula nti: “Ezo ze mpewo ennya ez'eggulu ezifuluma, nga zimaze okuyimirira mu maaso g'Omukama w'ensi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’anziramu nti, “Ezo z’empewo ennya ez’omu ggulu; ziva kweyanjula mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti, “Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu, eziva okweyanjula mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'anziramu nti: “Ezo ze mbuyaga ennya, ezaakava mu maaso ga Mukama w'ensi yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.