Zechariah 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embalaasi ez'amaanyi ne zivaayo nga zifuba okulaga wonna mu nsi. N'agamba nti: “Mugende muyite wonna mu nsi.” Ne ziyita wonna mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo embalaasi ezo ez’amaanyi nga zivudde mu maaso ga Mukama, ne zifuba okutambulatambula mu nsi yonna; n’azigamba nti, “Mugende, mutambuletambule mu nsi yonna.” Awo ne zitambulatambula mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eza kikuusikuusi zivaayo okugenda zitambuletambule mu nsi; n'azigamba nti, “ Mugende, mutambuletambule mu nsi.” Awo ne zitambulatambula mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embalaasi ezo ez'amabomboola zaavaayo nga zaagala nnyo okugenda okutalaaga ensi. Malayika n'agamba nti: “Mugende mutalaage ensi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambuletambule mu nsi. Awo ne zitambulatambula mu nsi.