Zechariah 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temunyigiriza nnamwandu, mulekwa, omugwira n'omwavu; mu mitima gyammwe buli muntu aleme kulowooleza munne bubi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era mulemenga okubaawo omuntu yenna aloowoozanga obubi mu mitima gwe eri muntu munne”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulemenga kunyigiriza bannamwandu ne bamulekwa, wadde abagwira n'abaavu. Era mulemenga kuteesa kukola kabi ku bannammwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era muleme okulowoozanga obubi omuntu yenna eri munne mu mutima gwammwe.