Zechariah 7:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emitima gyabwe ne bagigumya ng'ejjinja baleme kuwulira tteeka na bigambo Omukama w'Amagye bye yabasindikira mu Mwoyo we nga yeeyamba abalanzi abaasooka. Omukama w'Amagye n'anyiiga nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa bannabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'olwazi, baleme okuwulira amateeka n'ebiragiro, Nze Mukama Nnannyinimagye bye nabawanga, nga mpita mu balanzi ab'edda. Kyennava mbasunguwalira ennyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa banaabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.