Zechariah 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe nakoowoola, tebaawuliriza, nange nno bwe baakoowoola, saabawuliriza, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Bwe n'abakoowoola ne bagaana okuwulira, nange ne ŋŋaana okuwulira bwe bankoowoola,” bw'ayogera Mukama w'eggye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga baagaana okuwulira bye nayogeranga, nange saabaddangamu bwe banneegayiriranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yayogerera waggulu, nabo ne bagaana okuwulira; bwe kityo balikaaba, nange ndigaana okuwulira, bwe yayogera Mukama w'eggye;