Zechariah 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabasaasaanya ne kibuyaga mu mawanga wonna ge baali batamanyi. Ensi n'esigala matongo nga bagenze, nga tewakyali ajjamu na kuvaamu, bwe batyo ensi eyeegombebwa ne bagifuula ddungu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“naye n'abasaasaanya ng'omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Awo ensi gye baleka n'efuuka amatongo ensi eyeegombebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'embuyaga ey'amaanyi, nabasaasaanya mu mawanga gonna ge baali batamanyi, ensi eno ennungi eyeegombebwa ne bagireka awo, n'efuuka matongo, nga tewakyali agibeeramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ndibasaasaanyiza n'embuyaga ez'akazimu wakati w'amawanga ge batamanyanga. Awo ensi n'eyonooneka ennyuma waabwe, omuntu yenna alemenga okuyitamu wadde okuddamu; kubanga baagifuula amatongo ensi eyeegombebwa.