Zechariah 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
babuuze ne bakabona b'Ekiggwa ky'Omukama w'Amagye n'abalanzi nti: “Nkungubage ko n'okusiiba mu mwezi ogwokutaano nga bwe nzize nkola emyaka mingi egiyise?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okusaba bakabona b’omu nnyumba ya Mukama ow’Eggye ne bannabbi nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogwokutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti, “Nkaabe era nsiibe mu mwezi ogw'okutaano nga bwe mbadde nkola okumala emyaka gino gyonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'okubuuza bakabona era n'abalanzi ab'omu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye ekibuuzo kino nti: “Twongere okukungubagira okuzikirizibwa kw'Essinzizo, nga tusiiba mu mwezi ogwokutaano nga bwe twakolanga edda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti Nandikaabidde amaziga mu mwezi ogw'okutaano nga neeyawudde nga bwe nnakola mu myaka gino egyenkana wano?