Zechariah 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buuza abantu bonna ab'omu ggwanga ne bakabona nti: ‘Bwe mwasiibanga ne mukaaba mu mwezi ogwokutaano n'ogwomusanvu emyaka gino gyonna ensanvu, mwasiibanga ku lwange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti, Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu (70), mwali musiibira nze?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba abantu bonna abali mu nsi eno ne bakabona nti bwe mwasiibanga ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw'omusanvu mu myaka gino ensanvu, temwakikolanga lwa kussaamu nze kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu, nze mwansiibira nze n'akatono?