Zechariah 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: ‘Mulamule mu butuufu, buli omu abeere wa kisa eri munne, amuddiremu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti, Musalenga emisango egy'ensonga, era buli muntu akwatirenga muganda we ekisa n'okusaasira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nawa abantu bange ebiragiro bino nti: ‘Musalenga emisango mu bwenkanya. Buli omu akwatirwenga munne ekisa, era amusaasirenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti Musalenga emisango egy'ensonga, era mukolenga buli muntu muganda we ekisa n'okusaasira;