Zechariah 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga eryakulembera ennaku ezo tewaaliwo mpeera eri muntu oba ekisolo; omuntu yagendanga ku mirimu gye naye nga talina buweerero ku mulabe, kubanga buli muntu nali mukyawaganyizza ne munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo nga tekinnabaawo, tewaali kupangisa bantu wadde ensolo, era tewaali afuluma, wadde ayingira nga teyeeraliikirira mulabe, kubanga nakyawaganya abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne.