Zechariah 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati abaasigalawo mu bantu bano sijja kubayisa nga bwe nakola mu biseera ebiyise, Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano abantu b'eggwanga lino abasigaddewo sikyabayisa nga bwe nabayisanga edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye.