Zechariah 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensigo erikula mu ddembe, omuzabbibu gulireeta ebibala byagwo n'ettaka liribaza ekibala kyalyo. Bino byonna ndibiwa abaasigalawo mu bantu bano bibeere byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaasiganga ensigo nga bali mirembe. Emizabbibu ginaabalanga ebibala byagyo, ettaka linaabazanga ebirime, n'enkuba eneetonnyanga. Ndiwa abantu b'eggwanga lino abasigaddewo ebirungi ebyo byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)