Zechariah 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe ennyumba ya Yuda n'ennyumba ya Yisirayeli, nga bwe mwali ekivumo mu mawanga, kale nno nzija kubawonya, mubeere omukisa. Muleke kutya, emikono gyammwe gigume.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, ab'amawanga amalala baakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Naye kaakano nja kubanunula mmwe, abantu abo bakozesenga erinnya lyammwe nga bawa omukisa. Kale temutya, naye mube ba maanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.