Zechariah 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Nga bwe nali nteesezza okubakola akabi naye ne mbasaasira, luli bajjajjammwe lwe bannyiiza, y'agamba Omukama w'Amagye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti, “Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe bansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Bajjajjammwe bwe bansunguwaza, namalirira okubabonereza, era sakyusa kirowoozo kyange, wabula nakituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe baansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa;