Zechariah 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
temuteesa kukoleragana bubi mu mitima gyammwe, n'okulayira eby'obulimba temukyagalanga, kubanga ebyo byonna mbikyawa, Omukama y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulemenga kulowooza mu mitima gyammwe kukola kabi ku bannammwe. Mulemenga kulayira bya bulimba, kubanga nkyawa obulimba n'obutali bwenkanya, n'obukambwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.