Zechariah 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Ekisiibo ky'omwezi ogwokuna, eky'ogwokutaano, eky'ogwomusanvu n'eky'ogw'ekkumi kirireetera ennyumba ya Yuda essanyu n'okusagambiza n'embaga ennungi; awo nno mwagale amazima n'eddembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda embaga ey'okusanyuka n'okujaguza; kale mwagalenga amazima n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'ogwokutaano, n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'ogw'ekkumi, kulifuuka ennaku enkulu ez'okusanyuka n'okujaguza mu bantu b'omu Buyudaaya. Kale mwagalenga amazima era n'emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Okusiiba okw'omu mwezi ogw'okuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda okusanyuka n'okujaguza n'embaga ennungi; kale mwagalenga amazima n'emirembe.