Zechariah 8:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ab'omu kibuga ekimu baligenda mu kirala ne bagamba nti: ‘Tugende, tuwanjagire mu maaso g'Omukama, tunoonye Omukama w'Amagye; nze ŋŋenda.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti, ‘Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu kibuga ekimu baligamba ab'omu kibuga ekirala nti: ‘Mujje tugende tusinze Mukama Nnannyinimagye, era tumusabe omukisa. Nange nja kugenda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.