Zechariah 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bangi balijja, n'amawanga ag'amaanyi galijja okunoonya Omukama w'Amagye mu Yeruzaalemu n'okuwanjagira Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga ag'amaanyi n'abantu bangi balijja e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye, n'okumusaba omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama.