Zechariah 8:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mu nnaku ezo, abantu kkumi okuva mu nnimi zonna n'amawanga balikwata omukugiro gw'omusajja Omuyudaaya ne bamugamba nti: ‘Tujja kugenda nammwe, kubanga twawulira nti Katonda ali nammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Mu nnaku ziri abantu kkumi (10) balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga, balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti, ‘Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezo, abantu kkumi ab'amawanga amalala, n'ab'eddiini endala, balyekwata ku Muyudaaya, ne bagamba nti: ‘Twagala tugende naawe, kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.