Zechariah 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: Nzija kukomawo mu Siyoni, wakati mu Yeruzaalemu. Olwo Yeruzaalemu kiriyitibwa Kibuga kya Mazima, n'olusozi lw'Omukama w'Amagye luliyitibwa Olusozi Olutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Nkiddiddemu Sayuuni, nnaabeeranga wakati mu Yerusaalemi, era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kukomawo mu Yerusaalemu ekibuga kyange ekitukuvu, nkibeerengamu. Kinaayitibwanga Kibuga Kyesigwa, era Lusozi lwa Mukama Nnannyinimagye, Olusozi Olutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nkiddiddemu Sayuuni, naabeeranga wakati mu Yerusaalemi: era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu.