Zechariah 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Kino kirabika ng'ekyewuunyo eri abaasigalawo mu bantu bano mu nnaku ezo, naye ne mu maaso gange bwe kirindabikira? Omukama w'Amagye y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Kirirabika ng'eky'ekitalo mu maaso g'abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba? Bw'ayogera Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekyo abantu b'eggwanga lino abasigaddewo bayinza okukiraba ng'ekitasoboka, naye nze nkisobola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe kiriba ekitalo mu maaso g'ekitundu ky'abantu abo ekirisigalawo mu nnaku ziri, kyandibadde kya kitalo ne mu maaso gange? bw'ayogera Mukama w'eggye.