Zechariah 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa k'abalanzi abaaliwo ku lunaku Ekiggwa ky'Omukama w'Amagye lwe ky'abangibwawo, emikono gyammwe gigume Ekiggwa kisobole okuzimbibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “ Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw'ennyumba ya Mukama lwe gwasimbibwa, ye Yeekaalu, ezimbibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mube ba maanyi mmwe, abawulira kaakano ebigambo bino, abalanzi bye baayogera kasookedde musingi gutandikibwawo, okuzimba obuggya Essinzizo lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku lwe baalasa ennyumba ya Mukama w'eggye, ye yeekaalu, ezimbibwe.