Zechariah 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka: Ekigambo ky'Omukama kirwanyisa ensi y'e Kaduraki, kijja kuwummulira ku Damasiko. Amaaso g'abantu gali ku Mukama, era nga n'ebika bya Yisirayeli byonna bwe bikoze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki era kirituuka e Ddamasiko. Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri batunuulidde Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummulo kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri liri eri Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buno bwe bubaka bwa Mukama; amaliridde okubonereza ensi y'e Haduraki n'ekibuga ky'e Damasiko, kubanga ekibuga kya Siriya ekikulu, kya Mukama, ng'ebika bya Yisirayeli bwe biri ebibye. Mat 11:21-22; Luk 10:13-14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummula kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri: eri Mukama;