Zechariah 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuggya ebigaali mu Efurayimu, n'embalaasi mu Yeruzaalemu; n'omusaale ogw'olutalo gulimenyebwa. Alirangirira eddembe eri amawanga; obwakabaka bwe buliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku mugga okutuuka ku nkingi z'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu ndimuggyako amagaali, ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi, n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa era alireeta emirembe mu mawanga, n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi, n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndiggya amagaali g'entalo mu Yisirayeli, n'embalaasi mu Yerusaalemu, era ndiggyawo omutego gw'obusaale ogukozesebwa mu lutalo. Kabaka oyo aliwa amawanga emirembe. Alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, okuva ku mugga Ewufuraate, okutuuka ensi gy'ekoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.