Zechariah 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naawe, olw'okubeera omusaayi gw'endagaano naawe, ndiyimbula abasibe bo okuva mu kizzi ekikalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe, ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, ndiggya abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Olw'endagaano gye nakola nammwe eyakakasibwa n'omusaayi gw'ebitambiro, abantu bammwe abaasibibwa ndibaggya mu bunnya obutaliimu mazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.