Zechariah 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Yuda mmuwese ng'omutego gw'akasaale, ne Efurayimu ne mmussaako ng'akasaale; Siyoni, nzija kusiikuula batabani bo, balwanyise abaana bo, ggwe Yavani, nkufuule ng'ekitala ky'omutabaazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale ngujjuze Efulayimu. Ndiyimusa batabani ba Sayuuni, balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani, mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nneewetedde Yuda; omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyita abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikozesa Buyudaaya ng'omutego gw'obusaale, ne Yisirayeli ng'obusaale. Ndikozesa ab'omu Siyooni ng'ekitala okulwanyisa ab'omu Buyonaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyina abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.