Zechariah 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama alirabikira waggulu ku bo, n'akasaale ke kalivaayo ng'ekimyanso; Omukama Katonda alifuuwa eŋŋombe, n'avaayo mu kikuŋŋunta ow'emaserengeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe, akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu. Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere, n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alirabika waggulu gyebali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiikkaddyo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alirabikira waggulu w'abantu be, alirasa obusaale ne buvaayo ng'okumyansa kw'eggulu. Mukama Katonda alifuuwa eŋŋombe. Alikumbira mu kibuyaga ow'omu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo.