Zechariah 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye alibataasa; balikavvula ne balinnyirira ab'envuumuulo; balinywa ne bawuluguma ng'abaliko omwenge; balijjula ng'ekibya, balitoba ng'ensonda z'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ow’Eggye alibakuuma. Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo, balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu. Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ebikozesebwa okumansira ku nsonda z'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye alikuuma abantu be, ne bazikiriza abalabe baabwe. Nga bali mu lutalo, balireekaana ng'abatamiivu. Balitta abalabe baabwe, omusaayi ne gukulukuta ng'ogw'ebitambiro ogujjuza ekibya, ne gutobya ensonda z'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto.