Zechariah 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama Katonda waabwe alibalokola ng'eggana ly'abantu be; balitemagana ku nsi ye ng'amayinja ag'engule ag'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze. Balitangalijja mu nsi ye, ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo Mukama Katonda alinunula abantu be ng'omusumba bw'awonya endiga ze akabi. Balimasamasa mu nsi ye ng'amayinja ag'omuwendo mu ngule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye.