Zechariah 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga kiriba kirungi, nga kiriba makula! Eŋŋano eriginnyimusa abalenzi, n'evviini ensu abawala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga baliba balungi era abatuukirivu! Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza, n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavubuka, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eyo ng'eriba nnungi esikiriza! Abalenzi n'abawala tebalijula ŋŋaano na mwenge musu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.