Zechariah 9:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne ku Kamati ayawula naye ensalo, ne ku Tiiro ne Sidoni, newandibadde nga bagezi nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo, ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne Kamasi ekiriraanye nakyo, Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hamati ekiriraanye Haduraki nakyo kya Mukama, nga Tiiro ne Sidoni bwe biri ebibye, awamu n'amagezi gaabyo gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.