Zechariah 9:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asukeloni aliraba n'atya, ne Gaza alyenyoola mu bulumi obungi, ne Ekuroni bw'atyo, kubanga essuubi lye lizikiridde; Gaza alifiirwa kabaka, ne Asukeloni alibulwa asulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asukulooni bino kiribiraba ne kitya; ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi. Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo; Gaza aliggyibwako kabaka we, ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula mu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ky'e Asukelooni kiriraba ebyo, ne kitya. Ne Gaaza kirirumwa nnyo. Era ne Asukelooni nakyo kirirumwa, kubanga byonna bye kyali kisuubira, biriba bifudde. Gaaza kirifiirwa kabaka waakyo, ne Asukelooni tekiribaamu bantu. Amo 1:6-8; Zef 2:4-7
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula nu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.