Zechariah 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazaaliddwa mu nsonga balisenga mu Asudodi, n'okwekuza kw'Abafilisitiini ndikukomya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagwira balitwala Asudodi, era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era ndimalawo amalala g'Abafirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'omusaayi omutabule balibeera mu Asudoodi. Mukama agamba nti: “Nditoowaza Abafilistiya abo bonna abeekulumbaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala.