Zechariah 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaayi gwe ndiguggya mu kamwa ke, n'ebyenyinyalwa bye okuva mu mannyo ge. Naye alisigalawo ku lwa Katonda, alifuuka mukulembeze mu Yuda, ne Ekuroni aliba ng'Abayebusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge. N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe, balifuuka bakulembeze mu Yuda, ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibaziyiza okulya ennyama erimu omusaayi, n'ebyokulya ebirala eby'omuzizo. Abalisigalawo bonna, balifuuka kitundu kya bantu bange, babe ng'ab'omu Kika kya Yuda. Ab'omu Ekurooni balifuuka kitundu kya bantu bange, ng'Abayebusi bwe baafuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi.